Entekateeka ya ACM yagezesebwa era n'ekozesebwako mu bitundu ne mu mawanga ag'enjawulo mu Africa, Asia wamu ne Latin America. Mu ngeri y'emu gyebuvuddeko ACM yakozesebwako mu disitulikiti za Uganda n'ekigendererwa eky'okutumbula eddembe ly'abakyala mukubeera n'obwananyini ku bibira n'emiti; era n'okugezaako okutumbula enkwasaganya wamu nobukulembeze mu kukola emirimu egitali gimu mu bibira n'emiti era n'okwesalirawo. Entekateeka y'ekitabo kino yesigamye ku bukugu buno; era nga yefananyizibwako kw'ekyo ekitabo ekyakolebwa abakugu e Nicaragua ne Uganda.
ACM egezesseddwa mu byalo ebiriranye ebibibira mukaaga era esobozesseza abantu babulijjo nga bakolagana ne kitongole ekitwala ebibira (National Forestry Authority) okuzzawo ebibira hekiteya attaano (50ha) mu bifo ebibira we byaali bisanyiziddwawo abantu abatuuze mu bitundu ebyo. Okwongereza ku ekyo, ACM esobozesseza abakyala okwenyigira mu kulabirira ebibira bino,okubeera n'obwananyini, okwenyigira mu bukulembeze, n'okufunamu ku sente okuva mu miti gye basimbye mu bitundu by'ebibira wamu ne ku nnimiro zaabwe.